Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 267 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Minisita Nadduli asimattuse okugajambulwa abavubuka e Mukono

November 9, 2017 · Mubiru Ali

Minisita owa guno naguli Hajji Abdul Nadduli asimattuse okugajambulwa abakulembeze b'ekibiina kya NRM abaayitiddwa okuva mu Disitulikiti y'e Mukono yonna oluvannyuma lw'okubasuubiza okubawa ensako ey'e mitwalo esatu esatu zebagambye nti ntono nnyo era nga tezibamala, batanudde okuwogganira waggulu ekiwalirizza ssentebe w'e kibiina mu Disitulikiti Hajji Ssebagala Twahili okuyita Nadduli annyonnyole abantu bano ekituufu.

Wabula Nadduli olukute akazindaalo avumye buvumi bakulembeze bano omubadde ba Ssentebe b'amagombolola, ba kkansala ba Disitulikiti wamu n'abesimbawo ko mu Mukono ku bbendera y'ekibiina kya NRN  nebagwa olwo nebamukasukira obukyupa bw'amazzi okukkakana nga abaserikale bamuddusiza. 

Olwo abakulembeze bano batandise okumuweereza  ebisongovu nga kwotadde n'okumulangira  okweyagaliza yekka mbu yalemera n'okuzzaayo emmotoka ya Disitulikiti , nebamugoba e Mukono obutadda.