Breaking
News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza…. News: Liirino eggwanga lyabantu ngomusajja okuwasaayo atwala mitwe gya nte ne bamuwa omuwala singa gimulema okwanjula kuba kugaanyi.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 193 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM
News

Minisita Nabakooba atongozza pulojekiti ya Home Equals

June 14, 2023 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba olunaku olwaleero atongozza campaign etuumiddwa ‘Home Equals’ ku mukolo ogubadde ku woteeri ya Golden Tulip mu Kampala.
Pulojekiti eno yatandikibwawo aba Habitat for Humanity Uganda (HFHU), ekitongole ekyobwannankyeewa ekiruubirira okulaba nti abantu 10,000 ababeera mu bifo ebyomugotteko mu; Kisenyi, Kamwokya, Mutungo-Bbiina ne mu Disitulikiti y’e Kumi batumbula obuyonjo, okufuna amazzi amayonjo wamu n’obwannanyini ku ttaka.
Nabakooba bwabadde ayogera ku mukolo guno, yeyamye okuwaayo obuyambi bwonna obusoboka eri HFHU bwebanaaba bateekesa pulojekiti eno mu nkola. Ayongedde okukikaatiriza nti Gavumenti yakukola kyonna ekisoboka okulaba nti etumbula obuyonjo mu bitundu ebyomugotteko.
Ono awadde HFHU amagezi okutunuulira n’enyingiza yamaka ago gebayamba okulaba nti batumbula nebyenfuna. Ono anokoddeyo pulogulaamu za Gavumenti eziteereddwawo okutumbula ebyenfuna bya Bannayuganda nga Parish Development Model (PDM).