Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 335 listening Simba FM Live

Minisita Nabakooba aleebezza abamuvuganya mu kamyuufu

September 4, 2020 · Mubiru Ali

Minisita Judith Nabakooba asambira nnyuma nga jjanzi, ono avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Twitter neyebaza Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM mu Disitulikiti y’e Mityana abavuddeyo mu bungi nebetaba mu kulonda mu kamyuufu k’ekibiina era nebamukwasa bendera y’ekibiina ku kifo ky’Omubaka omukyala owa Mityana mu kalulu ka 2021. Ono agamba nti kati alindirira kulangirirwa akulira eby’okulonda mu NRM.