Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 304 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Minisita Muyingo alagidde baggalewo amatendekero agasomesa abasawo agatali ku mutindo

August 31, 2023 · Mubiru Ali
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’Ebyenjigiriza eby’amatendekero agawaggulu Dr. John Chrysestom Muyingo alagidde Ssaabawandiisi wa Minisitule y’Ebyenjigiriza n’emizannyo okuggala amatendekero gonna agasomesa obusawo nga gakolera wabweru w’amateeka kubanga gano gasudde omutindo gw’ebyenjigiriza.
Muyingo bino abyogeredde ku woofiisi ya Ssaabaminisita mu Kampala bw’abadde afulumya ebyava mu bigezo by’Abasawo ebyakolebwa mu mwezi gw’omukaaga omwaka guno.