Minisita Mbayo alabudde abaagala okutabangula emikolo gy’ameefuga

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’obwa Pulezidenti, Esther Mbayo alabudde bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya Gavumenti abateekateeka okutaataaganya emikolo gy’okukuza ameefuga ga Yuganda egigenda okuyindira e Mbarara nti balye kamanye, banaalaba ekinaava mu y’ebiraka.

Kino kiddiridde amawulire ayitingana ku mikutu gy’amawulire nti ab’oludda oluvuganya Gavumenti nabo bateeseteese emikolo gy’okujaguza ameefuga nga bagamba nti eya Gavumenti tegisaanidde kubaayo.

Bwabadde ayogerako ne Bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire erya Gavumenti – MEDIA CENTER mu Kampala, Mbayo ategeezezza nti baamaze dda okutegeeza ebitongole by’ebyokwerinda okugombamu obwala oyo yenna anagezaako okutabangula eggwanga ku lunaku olwo era nti ku mukolo gwegumu bagenda kugaba emidaali kkumi (10).

Share.

Leave A Reply