Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 257 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Minisita Kyambadde agugumbudde abazadde ku baana abawala

April 10, 2017 · Mubiru Ali

Minisita w’ebyobusuubuzi n’amakolero era nga ye mubaka mu Palamenti owa Mawokota ey’amambuka, Amelia Kyambadde agugumbudde abazadde abatafaayo ku baana ab’obuwala nebatuuka n’okwefumbiza nga bakyali bato.

Amelia Kyambadde okwogera bino abadde aggalawo omusomo ogukwata ku byobulamu ogwayindidde ku ddwaliro e Butoolo mu Disitulikiti y’ e Mpigi ogugendereddwamu okubangula abantu ku ngeri gyebayinza okwewalamu omusujja gw’ensiri.

Asinzidde wano n’akukkulimira abazadde olw’okusuulawo obuvunaanyizibwa bwabwe ekiviiriddeko abaana baabwe abangi okuzaalira ku myaka emito ddala wakati wa 13 ne 15. Era mu kino atiisatiisizza ย n’okuweweenyula abaaba abato abawala baanaasanga nga beemoola n’obulenzelenzi.