Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 412 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Minisita Kitutu ne muganda we basindikiddwa ku alimanda e Luzira

April 6, 2023 · Mubiru Ali
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Mary Goretti Kitutu ne Muganda we Micheal Naboya Kitutu basindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira okutuusa nga 12-April lwakubulankanya amabaati 9000 agaali ag’abantu abayinike mu bitundu by’e Karamoja.
Okusinziira ku Munnamateeka we, Kitutu mutuuze w’e Bunga, Maama w’abaana 7 n’abazzukulu 7 ngalina ebyobugagga e Kololo ne Wakiso. Nti mwetegefu okusingayo ebyapa bye mu Kkooti okumuyimbula ku kakalu ka Kkooti. Munnamateeka ategeezezza nti ono alina ekirwadde ky’omutima ekimusumbuwa (left ventricle stiffness).