Minisita Kibuule awereddwa mu Palamenti okumala entuula 3, emmundu y’ebizadde

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga aweze omubaka mu Palamenti owa Mukono ey’amambuka ate nga ye mubeezi wa Minisita  avunaanyizibwa ku nsonga z’amazzi, Ronald Kibuule obutadda mu Palamenti okumala entuula ssatu lwa mmundu.

Kubuule okuwerebwa kiddiridde Sipiila okukakasa ekya Hon. Ssemuju Nganda kyeyagambye Palamenti akawungeezi ka ggyo nti yayingidde n’emmundu mu kisenge kya Palamenti mwebateeseza ekitakkirizibwa.

Hon. Kibuule awereddwa n’ababaka abalala 24 ab’oludda oluwakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga .

Share.

Leave A Reply