Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 220 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Minisita Kasaija akwasizza aba AFREXM Bank ettaka

October 3, 2022 · Mubiru Ali
Minisita Matia Kasaija enkya yaleero awaddeyo ettaka erisangibwa ku luguudo Yusuf Lule mu Kampala nga lino lyali lya NSSF eri Pulezidenti era Ssentebe wa Board of Directors aba African Export Import Bank – Afreximbank H.E Dr Benedict Okey Oramah bazimbeko ekitebe kya Bank eno mu ttunduttundu lino.
Ettaka lino nga liweza yiika 2.8 lyalina ebyapa 8 wabula olwaleero ebyapa 7 byebikwasiddwa Bank eno okukulaakulanya ekifo kino.