Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 1,044 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Minisita Beti Kamya avuddeyo n’ebiragiro ebiggya

April 16, 2020 · Mubiru Ali

Minisita w’ebyettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga Betty Olive Namisango Kamya avuddeyo nawa ebiragiro ebirina okugebererwa mu biseera bino ebya #COVID19 #lockdown:
1. Teri musenze n’omu alina kugibwa ku ttaka lyebaliko mu kaseera kano aka #COVID19 #lockdown.
2. Bannanyini ttaka oba abakiise baabwe bakugenda mu maaso n’okungaanya obusuulu mu kaseera kano aka #COVID19 #lockdown.
3. Nannyini ttaka bwanasalawo okutunda ettaka lye eri omuntu omulala atali musenze mu kaseera kano aka #COVID19UG #lockdown, eddembe lyabasenze abali ku ttaka terijja kutaataganyizibwa era nannyini ttaka alitunze wakubanjula eri omupya gwaliguzizza.
4. Abakulira Uganda Police Force bayite ba DPC balabuddwa obutenyigira mu mivuyo gy’ettaka gyonna. Teri nsonga yattaka yonna ekirizibwa kukolebwako mu kaseera kano aka #lockdown.
5. Teri nsonga yonna etwaliramu okusengula abasenze ku ttaka erina kugenda mu maaso era singa kibeerawo mwekubira mangu enduulu ku Poliisi ebali okumpi.