Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 92 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Minisita Bahati yandagire nkyuuse Minisitule egende ku kizimbe ekipangise – PS Ssali

July 19, 2023 · Mubiru Ali
Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’Ebyobusuubuzi Geraldine Ssali yavuddeyo yategeezezza Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobusuubuzi, obulambuzi n’amakolero nti waliwo Baminisita abaali mu ddiiru y’okugezaako okusengula ekitebe kya Minisitule okukiggya ku kizimbe kya Gavumenti ekya Farmers House okudda ku kizimbe ekipangise ekya Kingdom House.
Ssali yategeezezza nti yali Mubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byamakolero David Bahati eyamugamba okukyuusa ekitebe kya Minisitule kizzibwe ku Kingdom Kampala oba King Ceaser Plaza.
Akakiiko akabadde akakubirizibwa Ssentebe waako Mwiine Mpaka katadde Principal Assistant Secretary Everest Ahimbisibwe wamu neyali Head of Procurement Lapyem okunnyonyola lwaki baali bakyuusa ekitebe kya Minisitule okukijja ku kizimbe kya Gavumenti bakitwale ku kizimbe kyebalina okupangisa obuwumbi 8 buli mwaka.
Ssali yategeezezza nti Minisita Bahati yamulagira okwanguyiriza ekyokusengula Minisitule ku lunaku lwe olwasooka mu Minisitule eno.
Ssali agamba nti wabula yalemererwa okufuna ebiwandiiko ebitongole okuva era abaddukanya ebizimbe bino byombiriri nasazzaamu ddiru eno.
Ssali era yategeezezza nti yaggwa ku biwandiiko ebirala, abakungu mu Minisitule eno kwebaali basabidde ensimbi ezenyongereza obuwumbi 20 okudaabiriza ekizimbe kya Farmers House mu kifo ky’obuwumbi 6 mu obukadde 200 Minisitule ya Works zeyayisa okukozesebwa.