Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 133 listening Simba FM Live

Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu ayitiddwa mu kakiiko ka Palamenti

July 29, 2016 · Mubiru Ali

Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’obulamu kayise bukubirire Dr. Jane  Ruth Aceng Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu mu ggwanga alabikeko gyekali akannyonnyole lwaki ebintu ebimu tebitambula bulungi naddala ku namunkukumbo w’endwadde agwanidde okulwanyisa mu ggwanga.

Akakiiko kaagala akalage n’enteekateeka ya Minisitule ku nsonga y’abanoonyi b’obubudamo ababuuka n’edwadde okuva mu mawanga ag’emiriraano.

Sentebe w’akakiiko kano Dr. Michael Bukenya nga mubaka wa Bukuya mu Palamenti agamba nti ate bwegutuuse ku banoonyi b’obubudamo aba Sudan abava e South Sudan negujabagira.