⚽ Minisita avunaanyizibwa ku byamawulire wamu n’okulunganya Eggwanga Hon. Justine Kasule Lumumba avuddeyo nategeeza nga Olukiiko lwa Baminisita bwerwayisizza ekiragiro okugoba abasuubuzi bonna abapangisibwa amaduuka mu basement z’ebizimbe mu Kibuga Kampala kuba ebifo bino birina kukola nga Parking.
Olukiiko lwerumu lwayisizza obuwumbi 18 mu obukadde 999 nga zino zakuduukirira abasuubuzi abakakasiddwa 1,841 okuva mu bizimbe 13 mu Kampala abakosebwa amataba agaliwo mu October 2025.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

