Breaking
News: Okutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ku St Mark High School e Kayunga. News: Okutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya kwaleero nga 692026 ku St.Mark High School Busaana Kayunga Bugerere. Okuyingira News: Program Gasimbagane ne Bannamawulire mwebakwatidde Charles Rwomushana olwaleero, ekusubye?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 124 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Minisita atabukidde bank ze Mubende ezisala ssente za PDM

October 16, 2023 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba; “Nga tukyalondoola ensimbi za ‘Parish Development Model funds’, Abantu b’e Mubende bantegeezezza nti bbanka mu Greater Mubende zibasasuza ssente nga bagenze okuggyayo ensimbi z’emyooga. Nsuubira nti ssente zino ezibatemwako teri ziri mu mateeka. Abantu balina okufuna ssente zaabwe zonna eziri ku mpapula. Kino ngenda kukirondoola era mbasaba nti ffenna tulina kukolera wamu okulaba nti enkola eno evaamu ebibala.”