Minisita Anite ab’e Koboko abaggyeeko ambulance

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Agava e Koboko galaga nti Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRMera Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku kukusiga ensimbi eraa Omubaka wa Koboko Municipality

Hon Anite Evelyn bweyekyuusirizza mu kiti ng’embazi natwala emotoka agafemulago gyeyali atonedde Koboko Health Centre IV bwebaali bagenda mu kamyuufu ka NRM mweyawangulirwa Dr. Ayume.
Nga 7-September-2020, Minisita Anite emotoka eno yagikwasa mu butongole Koboko Municipal Health Department era nasuubiza okusasula ddereeva waayo okumala emyezi 6 nga ayagala eyambe okukendeeza ku muwenda gw’abakyala abazaalira awaka olwobutaba nantambula wamu n’okubatwala mu malwaliro amanene okufuna obujanjabi obusingawo.
Kigambibwa nti yagiggyeyo ku sabiiti, wabula ye Health Inspector Joel Azabo agamba nti tebanafuna kumanyisibwa kwonna okuva ku bakulira eddwaliro lwaki emotoka eno teriiwo mu ppaakingi.
Avunaanyizibwa ku byobulamu mu Disitulikiti y’e Koboko Dr. Denis Oloya agamba nti emotoka eno yatwaliddwa e Kampala nti wabula si yeyagiwaddeyo. Ye Meeya wa Koboko Municipality Wilson Sanya yakakasizza nti emotoka eno yadiziddwa Minisita nti era Ddereeva yamutegeezezza nga Minisita Anite bweyalagidde emudizibwe. Mukugezaako okwogera naye Minisita yategeezezza nga bwatakyali Mubaka wa Koboko, era talina kyagenda kwogera bamulekere emirembe gye. Disitulikiti y’e Koboko erina emotoka zino zigafemulago 7 ezikola naye nga kati eddwaliro lya Koboko Health Centre IV terikyalina oluvannyuma lwa Minisita okutwala gyeyali yaliwa.
Share.

Leave A Reply