Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 428 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

minisita akwasizza 2 lwakugaana kubayisa mu layini ya bbanka

January 16, 2019 · Mubiru Ali

Bakasitoma ba Bbanka ya DFCU e Soroti babiri bamaze enaku 5 mu kaduukulu ka Poliisi nga buvunaanibwa ogw’okugaana Omubeezi wa Minisita ku nsonga za Teso Agnes Jaff Akiror okubayisa nga bali mu layini ya Bbanka ku lw’okutaano.

Mohamed Sebuya, 35, ne  James Davis Bamwidhi, 30, bombi nga ‘money lender’ nga bakolera Munarura Associates bebakwatiddwa ku lw’okutaano oluvannyuma lwa Minisita okukubira  Regional Police Commander wa Kyoga East, Mr Maxwell Ogwal, nga amutegeeza nga bweyabadde alumbiddwa nga ali mu Bbanka.

Omu ku bakozi ba Bbanka agamba nti Minisita Akiror yayingidde Bbanka eno nayagala ayise buyisa bakasitoma ababadde basimbye layini agende bamukoleko, awo abantu webatandikidde okwemulugunya olwo Minisita ye nakubira Ogwal.

Ye Ogwal agamba nti Minisita yamukubidde namutegeeza nti yabadde alumbiddwa abasajja babiri bweyabadde alina byakola mu Bbanka eno. Poliisi egamba nti bano bakyatubidde nabo kuba tebanatandika kukola kunoonyereza olw’okuba Minisita tanagenda ku Poliisi kukola Siteetimenti. Mukwogera ne Minisita ku lw’omukaaga yategeezezza nga bwakyalina emirimu emingi gyakwasaganya ku kyala kwa Pulezidenti Museveni e Katakwi.