Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 275 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

minisita aguddewo akatale k’ebisolo e ssembabule

March 12, 2019 · Mubiru Ali

Abalunzi n’abasuubuzi b’ente mu Disitulikiti y’e Ssembabule bali mu ssanyu oluvannyuma lwa Minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi okuggyawo kalantiini ebadde ekulungudde emyaka ebiri ng’abalunzi tebatambuza bisolo kyebagamba nti kyaali kibaavuwazizza nga bafuna okusoomozebwa ku kuweerera abaana n’okwebeezaawo.
Kalantiini yajjibwawo Minista Vincent Bamulangaki Ssempijja bweyalangirira nti Disitulikiti ezaakosebwa ekirwadde kya kalusu okuli ne Sembabule zijjiddwako kalantiini era obusuubuzi bwente buzzeemu mu bitundu bino.
Abalunzi n’abasuubuzi bente mu katale k’e Kabanswere mu ggombolola y’e Lwebitakuli basangiddwa nga beetala mu ssanyu okugula ebisolo okubadde n’embuzi ne bagamba nti baludde nga bafiirwa ensimbi ng’ente eyemitwalo 80 ebadde ku mitwalo 40 ne basaba Gavumenti ebongere eddagala eriziyiza endwadde nga kalusu.