Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 583 listening Simba FM Live

Minisita Aceng awakanyizza abamuyimbirira

July 12, 2020 · Mubiru Ali
Minisita w’Ebyobulamu Hon.Dr.Jane Ruth aceng avuddeyo nayanukula ku kifaananyi kye ekibadde kitambula ku social media nga kiraga nti yatuuzizza olukiiko awatabadde social distance nga tayambadde na Mask.
Minisita Aceng agamba nti tanakuba ku lukiiko lwabyabufuzi wabula yabadde atongoza kugaba Mask mu Gombolola y’e Aromo wamu n’okutendeka abantu ennyambala yaazo ku lwokutaano nga 10-July-2020.
Wabula mu kadde ako ku kyalo kyekimu Abavubuka wamu nabebyobulamu mu kitundu babadde basomesebwa ku ngeri y’okugabamu obutimba bw’ensiri.
Bano bebakyamuse nga bawulidde ku kya mask nga era bakitegedde nti Minisita w’Ebyobulamu gwe bayita ‘Maama Corona’ waali nebagenda okumulaba nga kyabadde kizibu okubafuga nga bwekirabika mu bifaananyi.
Minisita gamba nti yatutte obudde okusomesa abavubuka ku mask era bavuddewo nga bayize omugaso gwa mask ne social distance.
Nga Minisita ali mu lutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19 era ayagala okwesimbawo ku kifo ky’omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Lira agamba nti amanyi bulungi ebiragiro n’ebirina okugobererwa naddala ebyateekebwawo Gavumenti.
Minisita akubirizza abantu okugenda mu maaso n’okwambala Mask, okulekawo akabanga, wamu n’okunaaba engalo ne ssabbuuni.