Breaking
News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 183 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Mariach gamumyukidde mu kkooti

July 3, 2018 · Mubiru Ali

Munnakatemba Charles Kasozi amanyiddwa nga MC Mariach ayimbuddwa Kkooti y’e Mengo ku musango gw’okukuba muserikale w’ebidduka. Bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Esther Nyandoi owa kkooti ya Nateete / Lubaga esangibwa e Mengo ne babasomera emisango ebiri okuli okukuba omuserikale n’okumulemesa okukola emirimu gye era bonna ne bagyegaana.

Mariach ne Bunjo nga bombi basabye kkooti beeyimirirwe era omulamuzi n’abalagira baleete abantu abayinza okubeeyimirira. Baaleese Andrew Benon Kibuuka akulira bannakatemba n’abayimbi okwabadde Emmanuel Serugo owa Emma promotions ne Ibrahim Kintu. Omulamuzi Nyadoi yabakkirizza okweyimirirwa n’abalagira okusasula emitwalo 50 ez’obuliwo ate ababeeyimiridde basasule obukadde 2 ezitali za buliwo.

Omusango yagwongeddeyo okutuusa nga August 3, 2018. Mariach baamusomedde n’emisango emirala okuli ogw’okuvugisa ekimama n’obutagondera biragiro bya muserikale wa tulafi ki.