Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 236 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Mao ayagala enkolagana ya DP ne NRM ezzibwe buggya

January 10, 2024 · Mubiru Ali
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Uganda era nga ye Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka Norbert Mao akawangamudde nti ayagala enkolagana y’ekibiina ki DP gyekirina ne Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM ezzibwe buggya mu kisanja ky’ebyobufuzi ekiddako ekya 2026-2031. Mao agamba enkola eno yakuyambako nnyo ekibiina kya DP okukola obulungi mu kalulu aka 2026 era nti balina n’essuubi nti omukago guno gusobola okubaleetera enkyuukakyuuka mu Ggwanga.
Bino yabyogeredde mu lukungana lwa Bannamawulire olunaku lw’eggulo.