Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 470 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Manchester United ewangudde UEFA Europa Liigi

May 25, 2017 · Mubiru Ali

Manchester United F.C be banantameggwa ba UEFA Europa League oluvannyuma lw’okukuba Ajax ggoolo 2-0 mu mupiira ogunyumidde abalabi mu Friends Arena.

Manchester United bamazeeyo omugatte gw’ebikopo ebyamaanyi era nga besozze Champions League season ejja.

Ggoolo za Manchester United ez’obuwanguzi zitebeddwa Paul Pogba’s mu kitundu ekisooka ne Henrikh Mkhitaryan’s mu kitundu eky’okubiri.

Lubadde lugendo luwanvu season eno nga Man U esambye emipiira 64 nga muno mubaddemu emipiira 15 nga etindizze miles 1,400 mu bibuga musanvu eby’enjawulo.

Obuwanguzi buno obutuukiddwako mu Sweden kitegeeza nti Jose Mourinho awangudde empaka 3 mu Season ye esoose ku Old Trafford omuli UEFA Europa, Community Shield ne EFL Cup.

United esuubirwa okusisinkana Juventus oba Real Madrid mu Cardif mu UEFA Super Cup nga 8 August mu Philip II Arena e Skopje, Macedonia.