Male Mabiriizi ayagala Ssaabalamuzi ave mu musango gwa Bobi Wine

Munnamateeka Male Mabiriizi Kiwanuka avuddeyo nawandiikira Ssaabalamuzi Alfonse Owiny- Dollo nga amusaba ave mukuwulira okwemulugunya kwa Munnakibiina kya National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine kweyawaayi mu Kkooti Ensukulumu nga awakanya okualngirirwa kwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga omuwanguzi mu kalulu ka 2021.
Mabiriizi agamba nti kyabuvunaanyizibwa Ssaabalamuzi Owiny-Dollo okuva mu musango guno kuba yali Munnamateeka wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kwemulugunya kwekumu okwebyekulonda okwawabibwa Rt. Col. Dr. Kizza Besigye mu 2006 mweyali awakanyizibwa obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni.
Mabiirizi agamba nti kino kimalawo obwesigwa mu ye wamu n’ekitongole ekiramuzi kyonna kuba ensala asimbuka mu bwesigwa nti era obwesiggwa buggwawo singa abantu abategeera bavaawo nga balowooza nti Omulamuzi yabadde nekyekubiira.
Mabiriizi agamba nti etteeka ligamba nti omukozi yenna ow’essiga eddamuzi talina kwenyigirra mu musango gwonna singa abantu baba balowooza nti ayinza okubeera nekyekubiira okusinziira ku byafaayo byabwe okugeza mu mirimu oba bwebaali bakola nga Bannamateeka okusinziira ku kawayiro 28(i), 44( c) , 126 ne 128 obwa Ssemateeka wa Yuganda owa 1995.
Mabiriizi agamba singa Ssaabalamuzi Owiny-Dollo singa tava mu musango guno kijja kuba tekimenya mateeka kyokka wabula tekikirizibwa mu Ssemateeka nenkola z’obwenkanya.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

7 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

1 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

23 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon