Male Mabiriizi atutte Gavumenti mu Kkooti

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Munnamateeka Male Mabiriizi Kiwanuka tanaweera nga kati awawabidde Gavumenti ya Yuganda oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuddamu okulonda Dr. Johnson Byabasaijjja nga Commissioner General wa Uganda Prisons Service -UPS olwokuba asussa mu myaka 60 egyobukulu.
Okukuzibwa kwa Private Tom Magambo okutuuka ku ddaala lya Major nga tasoose kwebuuza ku UPDF Commissions Board, okulondebwa kwa Maj. Gen. Geoffrey Tumusiime Kasigazi nga DIGP nga tasoose kufuna kuwabulwa okuva eri UPDF Commissions Board.
Okulonda Major Magombo Tom okukulira CID nga tasoose kwebuuza ku UPDF Commissions Board.
Mabiriizi agamba bino byonna byakolebwa mu bumenyi bw’amateeka era ne offiisi bano zebaweebwa bazirimu mubumenyi bw’amateeka.
Share.

Leave A Reply