Maj. General Matayo Kyaligonza ab’e Nakisunga bamukaaba

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abatuuze ku kyalo Wankoba mu ggombolola y’e Nakisunga ekiri mu Disitulikiti y’e Mukono basula bakukunadde nga lumonde mu kikata oluvannyuma lwa Maj. General Matayo Kyaligonza okubasaayira emmere yaabwe ssaako n’okubasiba mu makomera awamu n’okubakubanga buli olukya. 

Kigambibwa nti yasenga ku ttaka lyabwe eriwerako yiika 12 nga lya omu ku batuuze Isaac Ganantaawa n’atwalako yiika ttaano kweyateeka kkampuni ye ekuba amayinja.

Maj. General Matayo Kyaligonza ye mumyuka wa Ssentebe wa NRM mu bugwanjuba bwa Yuganda.

Share.

Leave A Reply