Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 220 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Madubarah avunaaniddwa okuvuma Sipiika ne Gen. Muhoozi

November 19, 2024 · Mubiru Ali

Omutembeeyi w’engatto Juma Musuuza aka Madubarah 27, ye Tiktoker owa 5 okusimbibwa mu Kkooti navunaanibwa emisango gyokulebula Famire y’Omukulembeze w’Eggwanga era nasindikibwa ku alimanda.
Madubarah avunaanibwa okuvaayo nagamba nti; “Singa Yoweri Kaguta Museveni (Pulezidenti) akeera nakwasa mutabani we omutamiivu obuyinza, Uganda yakufaafagana efuuke matongo mu naku 2 zokka, Bannayuganda mwesabire, musabire ne Uganda.”
Kigambibwa nti mu mwezi gwegumu Madubarah yaddamu nayongera nti; “Muhoozi Kainerugaba bwanatwala obuyinza okuva ku Taata we Eggwanga, Uganda yakufaafagana mu naku 2 zokka olwengeri gyanywamu ate buli avaayo okwogera wakuttibwa oba okusibwa.”
Omuwaabi wa Gavumenti Janet Kitimbo yategeezezza Kkooti nti, Madubarah yalebula Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among bweyagamba nti; “Ngakozesa ssente y’omuw w’omusosolo yazimba ennyumba esinga ne State House wamu n’okugula ebizigo byokweyerusa.”
Omulamuzi wa Kkooti y’e Entebe Stella Maris Ambilis yagaanyi Madubarah okusaba okweyimirirwa namutegeeza nti wakudda mu Kkooti nga 27 November bawulire okusaba kwe.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe