Mabiriizi atutte mirundi mu kkooti lwakumulebula

Omusajja ateerya ntama Male Mabiriizi azeemu okusitula enkuudi nga ku mulundi guno addukidde mu kkooti enkulu nga yekubira enduulu ku bigambo ebyayogerwa Tamale Mirundi bweyali ku leediyo ya Pearl FM nategeeza nga Minisita y’ensonga z’ebweru mu Ggwanga Sam Kahamba Kuteesa bweyamukozesezza okutwala omusango mu Kkooti okulemesa okuzimba eddwaliro ery’omulembe e Lubowa.
Ono agamba nti ebigambo bino bikuma mu bantu omuliro okumutuusaako obulabe n’okumwonoonera erinnya kubanga munnamateeka omutendeke eyeerowooleza yekka era nga abadde mu misango egy’amaanyi nga ‘Togikwatako’. Omusango guno guli ku fayiro nnamba 126/2019 nga Mabiriizi avunaana Tamale Mirundi ne Pearl of Africa Radio LTD (Pearl Fm).

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Museveni alonze ba Minisita 80