BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Mabiriizi akyakalambidde ku kya Kkooti okuyita Bobi Wine

Hassan Male Mabiriizi Kiwanuka olunaku olwaleero asabye Omulamuzi w’eddaala erisooka owa Kkooti ya Buganda Road Stella Amabilis ewalirize Omubaka wa Kyaddondo East era Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine okulabikako mu Kkooti yewozeeko ku bigambibwa nti yalimba emyaka gye ku biwandiiko bye eby’obuyigirize.

Mabiriizi agamba nti Kkooti tesobola kugenda mu maaso nga Kyagulanyi taliiwo kwewozaako okusobola okufuna obwenkanya kuba ddembe lye erimuweebwa Ssematekka akawayiro aka 28.

Wabula ow’oludda oluwaabi olwa Gavumenti Peter Mugisha awakanyizza okusaba kwa Mabiriizi nga agamba nti waliwo ebbaluwa eya nga 2-September-2020 okuva ewa Director of Public Prosecution (DPP) nga ayagala Gavumenti okwezza omusango guno.

Mugisha agamba nti tewali kwemulugunya kuva mu Palamenti nga bulaga nti omubaka ayogerwako yawaayo ebimukwatako ebijingirire bwatyo nasaba omulamuzi okwogerayo ekiseera nga tanayita Mubaka Kyagulanyi mu Kkooti okuwa DPP obudde okunoonyereza ku musango guno.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply