Maama n’omwana bafudde lwa mataba kusalako kubo e Moroto

Maama abadde asuliridde okuzaala afudde n’omwana we gwabadde tanaba kuzaala Lorengechora, 78kms ku luguudo lwe Moroto-Soroti. Rose Angolere, 27, yabadde agibwa mu District ye Napak okugenda okuzaalira mu ddwaliiro mu Town ye Soroti wabula teyasobodde kutuuka oluvannyuma lwe motoka mwebabadde batambulira okuseerera netatuuka nga ebulayo Kilo meters 58 okutuuka mu town ye Soroti.

Ebisa byamusimbye nga bakyalinda amazzi gakendeere basale okuva ssaawa bbiri ez’okumakya okutuuka ssaawa kkumi nabbiri weyafiiridde.

Olutindo luno lubadde luddabirizibwa Kkampuni yaba China nga basaamu ebigoma ebipya wabula abalemereddwa olw’amazzi amayitirivu.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

4 0 instagram icon
Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973

Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973
...

1 0 instagram icon
Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno.

Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno. ...

10 0 instagram icon
Ekibiina ky’ebyobufuzi ki NEED kyagala ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority - UNRA ne Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala baveeyo n’enteekateeka y’okulondoola omutindo gw’enguudo mu ggwanga okutaasa ebiyinza okuddirira. Aba NEED bagamba embeera y’enguudo yeraliikiriza olw’ebinnya ebiyitiridde n’enguudo ezimu okufuuka ganyegenya ekitadde obulamu bw’abantu matigga.

Ekibiina ky’ebyobufuzi ki NEED kyagala ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority - UNRA ne Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala baveeyo n’enteekateeka y’okulondoola omutindo gw’enguudo mu ggwanga okutaasa ebiyinza okuddirira. Aba NEED bagamba embeera y’enguudo yeraliikiriza olw’ebinnya ebiyitiridde n’enguudo ezimu okufuuka ganyegenya ekitadde obulamu bw’abantu matigga. ...

12 2 instagram icon