maama nnabagereka atonedde abaana ebirabo

Maama Nnabagereka atonedde abaana ebirabo bya Christmas ab’okusomero lya Noah’s Ark Children’s Ministry Uganda erisangibwa e Nsambwe, Mukono district.
Essomero lino lirabirira abaana abato abasuuliddwa bazadde baabwe, abatalinaako mwasirizi, naabo abazaaliddwa nga tebatuuse olwo bbo nebabakuza nga bayita mu mateeka. Essomero likulirwa Sir. Piet Buitendijk eyebazizza Nnabagereka olw’okufaayo okulaba nga eddembe ly’abaana likuumibwa.
Nnabagereka agambye nti ensonga lwaki bawadde abaana abatalinako mwasirizi ebirabo bya Christmas kwekulaba nga nabo bafuna essanyu nga bannaabwe abalala.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
20 basimattuse okufiira mu kabenje, bapookya – Budaka