Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 392 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Maama Nnaabagereka alondeddwa nga Ambassada w’ebibiina bya bakyaala ebirwanirira Obutondebwensi mu Africa

March 22, 2021 · Mubiru Ali
Maama Nnaabagereka Sylvia Naginda yalondebwa nga Ambassada w’ebibiina bya bakyaala ebirwanirira Obutondebwensi mu Africa.
Nnabagereka yatongozza olukungaana olutudde ku Commonwealth Resort e Munyonyo okubaganya ebiroowozo ku kaweefube w’Okukuuma, Okutaasa n’Okuzzaawo Obutondebwensi era yayanirizza eryato eriyitibwa “plipflopi” eryakolebwa mu pulasitika n’ekigendererwa eky’okulwanyisa okumansamansa obucupa. Eryaato lino lyagobye ku nnyanja Nalubaale nga emu ku nteekateeka ya Wiiki y’Amazzi n’Obutondebwensi mu Uganda.
Eryaato lino kyabulambuzi olw’okuba nti lyonna lyakolebwa mu Pulasitika lyetikka abantu 15 liyina wotereka ebintu ne wofumbira.
Omukolo guno; gwetabidwako Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja – Minister w’Ettaka, Obulimi, Obutondebwensi ne Bulungiwansi mu Bwakabaka, Hon. Beatrice Atim Anywar – Minister Omubeezi ow’Obutondebwensi mu Gavumenti eya Wakati, n’omubaka wa UN mu Uganda – H.E Rose Malango.