Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 196 listening Simba FM Live

Maama azaalidde ku William Street

June 1, 2020 · Mubiru Ali

Kampala Metropolitan Police evuddeyo netegeeza nga Poliisi yaayo ennawunyi bweyasobodde okuyamba Omukyala eyazaalidde ku pavement ku William Street olweggulo lwajjo.
Ono bamugyeewo nebamutwala mu Ddwaliro lya Mulago Referral Hospital era nga Maama n’Omwana bali mu mbeera nnungi. Poliisi esiimye nnyo basajja baayo wamu n’Abantu babulijo abasobodde okugitegeeza mu budde.