Maama akwatiddwa lwakulimba nti mutabani we yawambiddwa

Poliisi e Ssembabule ekutte Rose Nantongo lwakwekobaana ne Edward Matovu eyali akola awaka okuwamba mutabani we Vianney Ssebulime basobola okujja ku Taata we Henry Mbabaali.

Kino kidiridde abatuuze okukwata Matovu nga bamulanga okuwamba omwana nategeeza Poliisi nti yalagirwa Maama w’omwana bamuwambe bafune ssente.

Lameck Kigozi nga ono ye mwogezi wa poliisi mu mumaserengeta agamba nti poliisi n’abatuuze babadde banoonya omwana ono kuva nga May 30 lweyabula. Lameck agamba nti Omwana yasangiddwa ku kyalo Kananjiri mu gombolola ye Mijwala mu maka ga Yuniya Komukama. Poliisi yakutte Komukama, bbaawe Samuel Ssekito, Margret Nabukeera n’omuvuzi wa boda boda Najib Luyinda eyabadde avuga Matovu webamukwatidde.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Empaka za Nnalulungi wa Victoria University zituuse ku Final