Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 390 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

lwaki URSB abantu ssente ababa bagenda okugattibwa mu masinzizo – Bp. Katumba

January 31, 2019 · Mubiru Ali

Omulabirizi wa West Buganda, Bp. Henry Katumba Tamale yeemulugunyizza ku ssente ekitongole ekivunanyizibwa kukuwandiisa bizinensi n’obufumbo mu ggwanga ekya Uganda Registration Services Bureau ze kijja ku bantu ababeera bagenda okugattibwa mu masinzizo okwefunira obufumbo obutukuvu .

Bp. Tamale agamba nti ssente zino zandibadde zigabanibwa wakati w’ekitongole n’amasinzizo kubanga omulimu gw’okugata n’okuwandiisa obufumbo nabo nga bannaddiini bagulinamu omukono ogw’amaanyi.

Ategeezezza ng’omulimu ogusinga bwe guli ogwa bannaddiini okugeza; empapula zonna ezikwatagana n’okuwandiisa obufumbo zikolebwa mu masinzizo olwo abagole ekitongole ne bakitwalira empapula nga ziwedde okukolebwako era ne basasula ekitongole kino emitwalo 35,000.

Katumba asinzidde mu musomo gwa bannaddiini ogwategekeddwa ekitongole kino ku Brovad Hotel mu kibuga Masaka n’ekigendererwa ky’okubasomesa emitendera gy’okuwandiisa bizinensi zaabwe n’obufumbo obutukuvu.

Kizza Zeus ng’ono y’avunaanyizibwa ku kuwandiisa obufumbo mu kitongole kino alaze bannaddiini akabi akali mu kugatta abantu mu bufumbo obutukuvu nga tebagoberedde mitendera ekiviiriddeko abafumbo okufuna ebizibu entakera.