Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 1,470 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM
News

Lwaki temwagala b’amaggye kwanja bya bugagga byabwe? – Babaka

September 26, 2023 · Mubiru Ali
Ababaka ku ludda oluvuganya bavuddeyo nebawakanya ekya Gavumenti okugamba nti abasirikale b’eggye lya UPDF tebajja kwanjulira IGG byabugagga byabwe nti wabula bakubyanjulira Chieftaincy of Military Intelligence (CMI).
Bano bagamba nti ebyokwerinda biweebwa omutemwa ggwa ssente munene nnyo okuva mu mbalirira y’Eggwwanga nti n’olwensonga nti olwokuba tewali byamaanyi bisaasanyizibwako nsimbi zino bayinza okwagala okwezza ensimbi zino nti nabwekityo kibeera kyabuvunaanyizibwa okwanja ebyobugagga byabwe okumanya oba nga babifuna mu makubo matuufu.