Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 132 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Lwaki temuwa Bannayuganda Internet yabwereere

July 2, 2018 · Mubiru Ali

Bannayuganda bataano (5) bavuddeyo ne bwatwala Gavumenti ya Uganda mu kkooti etawulula enkayana za Ssemateeka ku by’omusolo gwa Social Media nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Cyberlaw Initiative.

Bano baagala kkooti eragira Gavumenti eggyewo Omusolo gwa Social Media ogwa nnusu 200 ezokusasula buli lunaku ogumanyiddwa nga Over the Top (OTT). Bano nga bakulembeddwamu Daniel Opio bawabidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya ekya Uganda Communications Commission (UCC) nga bakivunaana okuwa ekitongole ekisolooza emisolo ekya Uganda Revenue Authority olukusa okujja omusolo ku Bannayuganda.

Era bongeddeko okuwawabira Anthoney General nga bamunenya lwaki Gavumenti tewa bantu Internet yabwereere eri Bannayuganda ate nga ddembe lyabwe lyabwebange.