Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 201 listening Simba FM Live

Lwaki Palamenti ekyuusa ebinkwatako – Bobi Wine

August 29, 2020 · Mubiru Ali
Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka

Bobi Wine; “Enkya yaleero nkeeredde ku mawulire nti ebinkwatako ku mukutu gwa Palamenti gubadde gukyuusiddwa. Omwaka gwange ogwobuzaale gubadde gukyuusiddwa okuva ku 1982 negudda ku 1980 nga sitegeezeddwa.
Nkubidde aba IT mu Palamenti nebantegeeza nti tebamanyi ani yabikyuusizza. Mbasabye banyinnyonyole lwaki bakikoze era ngenda kwogerako ne Director. Wabula wenjogerera kino bakiteerezezza.
Mbagumya mikwano gyange nti tewali kirina kuberalikiriza kumbinkwatako kubibe biwandiiko byabuyigirize bwange. Ngenda kuvaayo mu maaso awo mbyogereko. Mu kaseera kano ebyo byonna bikolebwa kunzikakanya nga bulijjo wamu n’okunemesa.
Ekyenaku bino bikolebwa naye tewali kijja kutulemesa kuleetawo nkyuukakyuka.”