Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 275 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM
News

Lwaki Mw. Museveni atasasulira luguudo lwa Expressway aluggazaawo – Hon. Sseggona

March 13, 2024 · Mubiru Ali

Omubaka akiikirira Busiro East Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Medard Lubega Sseggona yavuddeyo nateeka ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority UNRA kinnyonyole lwaki basiba nguudo 2 ku Entebe Expressway buli Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni lwaba akozesa oluguudo luno ssaako nezo eziyita waggula kyagamba nti kitaataganya abantu abalala abakozesa oluguudo luno ate nga balusasulira so nga ye Pulezidenti talusasulira nga alukozesa.
Mukwanukula Executive Director wa UNRA Allen Kagina ategeezezza nti basobola okukolera awamu nabebyokwerinda okwanukula kino nti wabula kino kyabulijjo ekyaba SFC okugenda mu kifo gyaba agenda okuyita nga tanatuuka okumukolera ekkubo. Ono ayongeddeko nti ebiubuuzo ebimu tasobola kubyanukula nti wabula bakola ku kyobudde bwebamala nga basibye enguudo zino bukendeereko.