Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 277 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Lwaki muzimba obutale ku ssente z’abakyala ezokwekulaakulanya – Hon. Opendi

July 3, 2024 · Mubiru Ali
Akakiiko ka Palamenti aka Public Accounts Committee akakulemberwa Hon. Muwanga Kivumbi kasisinkanye abakungu okuva mu Minisitule y’ekikula ky’abantu bannyonyole ku nsimbi obuwumbi 806.860 nga kyekitundu ekinene ekisinga obunene ku ssente za Pulojekiti ya Growth Opportunities and Productivity for Women Enterprises (GROW), zakugenda mu kulondoola emirimu gya Pulojekiti eno ngolwo ssente entono ezisigaddewo zezokuweebwa abakyala okwekulaakulanya.
Ye Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Tororo Sarah Opendi ye avuddeyo neyewuunya lwaki mu Pulojekiti ya GROW bateekamu ekyokuzimba obutale so nga waliwo obutale obwazimbibwa Gavumenti naye nga bukalu. Ono agamba nti ssente zino zirina kuyamba bakyala so ssi kuzimba butale.