Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 153 listening Simba FM Live

Lwaki mutusibako amatu g’embuzi okutuliisa engo – Min – Tumwebaze

May 16, 2020 · Mubiru Ali

Minisita w’ekikula, abakozi n’embeera z’abantu Frank K Tumwebaze avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Twitter nasambajja ekiwandiiko ekitambuzibwa ku ‘social media’ nga kiraga nga bweyavuddeyo ye n’abalala nebaduukirira Gavumenti ya Rwanda mu kiseera kino ekya #COVID-19. Minisita agamba nti zino ngambo ezitaliiko mitwe n’amagulu, nti era atera okubyewala naye olw’emikwano nabamugoberera asazeewo okuboygerako nti bifu. Agamba nti ababitambuza nabo ababateekamu ssente babamanyi kuba babadde bakikola ebbanga lyonna. Asabye ab’ebyokwerinda mu Yuganda okubanoonyerezaako bazuule ekigendererwa kyabwe.