Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 455 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

lwaki mususizza omululu gwa ssente – Omusumba Kaggwa

January 28, 2019 · Mubiru Ali

Omusumba w’essaza ekkulu ery’e Masaka, Johnbaptist Kaggwa mwennyamivu olw’abantu abasusse omululu gwa ssente mu ggwanga ne batuuka n’okwenyigira mu kusanyaawo obutonde bwensi nga basanyaawo emigga, entobazi n’ebibira ekiviiriddeko embeera y’obudde okukyukakyuka.Omusumba Kaggwa abadde aggulawo Klezia y’ekisomesa ky’e Mannyama Sub-Parish e Kaliisizo – Kyotera ng’eno yazimbiddwa abaana enzaalwa y’ekitundu abaakulembeddwaamu Omulangira Edward Nakibinge. Omukolo gwetabiddwaako ebikonge okuli; omumyuka wa Pulezidenti w’eggwanga, Edward Kiwanuka Ssekandi ng’ono yakiikiriddwa Minisita wa Micro Finance, Haji Haruna Kyeyune Kasolo eyasiimye ekikolwa eky’okuddiza Omukama.