Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 491 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

‘Lwaki munyigiriza omuntu wawansi abasasulire omusolo gwa OTT’ – Bobi Wine

May 17, 2019 · Mubiru Ali
Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo kukusasulira ababaka omusolo gwa OTT; “Kati oba omuntu ayogere ki? Bayisa emisolo egitaliiyo eri abantu abaavu ate oluvannyuma nebavaayo nebabefuulira babasasulire emisolo gino. Omwaka oguwedde twavaayo netuwakanya omusolo gwa OTT, Babaka banange bangi nebavaayo nebaguwagira. Leero nvunaanibwa olwokuwakanya omusolo guno nga bantwala n’e Luzira lwa kuwakanya musolo guno.
Kati Ababaka abamu abafuna ennyo okusinga omuntu wawansi, ate baagala abasasulire Omusolo guno! Kuno kuba kunyigiriza muntu wawansi.