Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 256 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

‘Lwaki Bbanka Enkulu ne DFCU temusasula Pathan?’ – Mulamuzi Nabakooza Flavia

May 26, 2019 · Mubiru Ali

Bbanka Enkulu eya Yuganda wamu ne DFCU ziragiddwa Kkooti enkulu mu Kampala etawulula enkayaana z’ebyenfuna okuvaayo bunnambiro zinnyonyole lwaki ssente zeyali omukozi wa Crane Bank eyaggalwa zikyakwatiddwa bbanka ya DFCU so nga Kkooti enkulu yalagirwa zimuweebwe emyezi ebiri egiyise.

Ismail Shakil Pathan yawawabira Bbanka Enkulu wamu ne DFCU ng’alaga nti basalanga ssente okuva ku akawunti ye mu bukyaamu eyali egaddwa mu bukyaamu nga tategezeeddwako.

Kkooti y’ebyenfuna yasingisa DFCU ne Bbanka Enkulu omusango nga egamba nti mu bbanga lya mwaka gumu obukadde 62 bwali bugiddwa ku akawunti ya Pathan mu ngeri emenya amateeka so nga yali takirizibwa kuggya nsimbi yonna okuva ku akawunti ye.

Kkooti yalagira Bbanka Enkulu wamu ne DFCU okusasula Pathan obukadde 62 wamu n’okumuliyirira obukadde 20 era nga okulwisibwa kwonna okumusasula balina okusasula engasi ya bitundu 21 ku 100 buli mwaka ku bukadde 62 n’ebitundu 6 ku 100 buli mwaka ku bukadde 20.

Omulamuzi Flavia Nabakooza yalagidde Bbanka Enkulu wamu ne DFCU okulabikako mu maaso ge bunnambiro nga 4-June bannyonyole lwaki tebasasulanga Pathan.

ย