Lwakataka atutte IGP mu kkooti ayagala bamudize Pistol ye
Omuvuzi w’emotoka Z’empaka Ponsiano Lwakataka addukide mu kkooti nga ayagala eragire IGP okumudiza Pistol ye nnamba CZ 75 9 MM No. AKO50 gyeyalina okuva mu 2001. Agamba nti emmundu eno teyagikozesa mu bukyaamu.
Omukungu avuunanyizibwa kukugaba license ye mmundu alina obuyinza okukujjako Certificate y’okubeera n’emmundu awatali kuwa nsonga yonna lwaki abeera akikoze.



