Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 1,145 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Luwalo Lwaffe, Amagombolola okuva e Kyaggwe, Gomba ne Ssingo bakiise embuga

September 22, 2020 · Mubiru Ali
Omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita w’Emirimu, Obuyiiya ne Tekinologiya yakiikiridde Katikkiro okutikkula abantu ba Ssaabasajja abakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe abavudde mu magombolola okuli; Mumyuka Mpenja e Gomba 2,320,000, Mutuba 9 Goma e Kyaggwe 2,500,000, ne Mutuba 5 Kiganda 660,000.
Mu kwogera kwe, Owek. Prof. Kaawaase yeebazizza abakiise embuga naagamba nti buno buvunaanyizibwa bwabwe era tetujja kunonooza bantu be bbali kutwala nsonga za Buganda mu maaso, “ffe tulina okwekwatiramu”. Yeebazizza abaami olw’okuleeta Oluwalo, naagamba nti ekisinga obukulu kwekutuuka embuga sso ssi muwendo gwa Luwalo luleeteddwa.
Abasabye bekuume akawuka ka COVID19, mu ngeri yeemu abasabye okubeera obumu mu kiseera ky’obululu ate naabo abeesimbyewo baleme kutemaatema mu bantu.
Wonna awamu baleese oluwalo lwa bukadde 5,480, 00