Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,436 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Lukwago ne banne bali mu katemba – Nandala Mafabi

August 20, 2024 · Mubiru Ali
Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change – FDC ekiwayi ky’e Najjanankumbi Nathan Nandala – Mafabi: “Tukitegeddeko nti wabaddewo olukiiko lwabonna olwa FDC era nebayisa n’ekiteeso. Twagala okuluŋŋamya bwetuti: FDC kibiina ekyawandiisibwa mu mateeka n’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission of Uganda, nga nabamu kwabo abeyita abakungu mu kibiina kino tebalina offiisi yonna mu FDC. Enkiiko z’ekibiina ziyitibwa abantu abatuufu abali mu offiisi z’ekibiina. Wasswa Biriggwa ne Erias Lukwago aberimbika mu kubeera Ssentebe w’ekibiina ne Pulezidenti sibatuufu era tebalina buyinza kuyita lukiiko lwonna olwabonna.
Bano benoonyeza byabwe nga amawulire era tebasaanye kubamalira budde era tusaba Bannayuganda balemwe kuwubisibwa katemba w’abantu nga Lukwago Erias akyankalanya buli walaga.”