Breaking
News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 327 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Lukululana esse basatu nga kuliko n’owemyaka 6.

February 29, 2016 · Mubiru Ali

Emiranga n’ebiwoobe bisaanikidde ekyalo Kibalinga ku luguudo oluva e Mubende okudda e Fort portal, lukululana ebadde edduka obuweewo bwetomedde abantu basatu nebafiirawo mbulaga.

Abantu babadde basaabalira ku Boda Boda Omusajja omu ategeerekeseeko erya Paatu, omukyala omu n’omwana omu wa myaka 6, Lukululana ebadde etisse omwenge gwa Bbiya nga ebadde eva Kampala ng’edda Fort portal.

Wabula Police esobodde okugoba emmotoka eno era kati egikuumira ku Police ye Nabingoola ate gyo emirambo gitwaliddwa mu ddwaliro e Mubende.