Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,506 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Luboggola Simba eyuuguumizza Luweero mu Nneeyimbira byange

May 8, 2017 · Mubiru Ali

Ensi n’ensi y’abawuliriza ba Luboggola Simba beekuluumuludde okuva e Bule n’e Bweya okweyiwa ku Nimrod Hotel e Luweero mu Disitulikiti y’e Luweero mu kamalirizo k’empaka za Nneeyimbira byange 2017

Empaka za Nneeyimbira byange ezimaze emyezi esatu nga ziyindira ku mpewo zikomekkerezebwa ku lunaku olwatuumibwa erya International Day of Freedom nga ku lunaku luno ennyambala eba ya Biraka byereere na Bituli byereere mu kifo kibuga ekyatuumibwa Las Vegas Kooka Kooka City.

Omukolo guno gufumbekeddemu ebintu bingo omuli, Okugaba engoye eri abo abatalina, okusamba omupiira ogwakazibwako erya Neesambira byange gattako n’okukooka okulaba ani afuuka Pulezidenti wa Nneeyimbira byange 2017.