loole esse basatu e banda

Ekimotoka ki lukululana kyaremeredde omugoba waakyo n’ekiyingirira essundiro ly’amafuta ssaako abantu okukkakkana nga basatu bafiiriddewo ate abalala baibri ne baddusibwa mu ddwaliro n’ebiwundu eby’amaanyi.
Akabenje kano kabadde ku ssundiro ly’amafuta erya Moil e Banda wano ku njegooyego z’ekibuga Kampala ekimotoka nnamba UBS 134 bwekigaanyi okusiba n’e kirumba Junior Lukundo abadde atunda sumbusa awo okumpi n’ekkubo n’emukoona n’afiirawo, Muzamir Muhammad abadde omugoba wa boda naye n’afa. Mu balala abalumiziddwa mu baddemu Peter Kazindo ne Cissy Nangobi nga bano baddusidwa mu ddwaliro e Mulago.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

66 4 instagram icon