Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 198 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Loodi MeeyaLukwago asimattuse okukubwa aba Park Yard

February 27, 2017 · Mubiru Ali

Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago asimattuse okugwibwa mu bulago agavubuka ga kawuula, ย ye wamu ne ba Kansala bwebabadde bagenze okulambula embeera eri ku katale ka Park Yard akazingiddwako Police enkya ya leero.

Bano okugenda mu katale kano kiddiridde Olukiiko olutudde olwaleero bonna okussa ekimu ng’enkuyege nebasalawo okugenda okulaba embeera eri mu Katale kano.

Omusasi waffe Nasser Kayanja abadde mu kifo kino atutegeezezza nti abantu abano olulabye oluseregende lw’emmotoka z’abakulembeze bano, ne basalako eya Lukwago ekireeseewo obweraliikirivu ku by’okwerinda bye era tayimiridde asigadde agenda mu maaso era bano nebamuwereekereza ebigambo ebimugoba okwamuka akatale.

Wabula oluvannyuma lwa Meeya okugenda ate abantu bano bakyukidde ne ba Kansala ababadde basigadde wabula Police eyanguye mangu okubataasa okuva mu kifo kino.