Breaking
News: Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agamba nti Ekitiibwa kya Buganda, kyoleka obutamanya, kuba Abaganda batemdereza Bajjajabwe abedda olwokulwa News: Amir Wamala, nannyini Amigo Farm Limited esangibwa ku Kyalo Rwanyangwe, mu Gombolola ye Kashongi, mu Disitulikiti ye Kiruhura bwabadde ayogerako News: Waliwo Ekika ngabantu baakyo batambuliranga mu kibinja ekyaviirako ebika ebirala okubekengera? Kimpe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 67 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Leero mu byafaayo.

April 11, 2019 · Mubiru Ali

Olunaku lwaleero lwegiweze emyaka 40 bukyanga Gavumenti ya Idi Amin Dada evunikibwa so nga ne mu Sudan enkya yaleero omukulembeze abadde amaze emyaka 30 ku bukulembeze Omar Al-Bashir alekulidde.

Nga 11-April-1979, Lieutenant Colonel David Oyite Ojok (RIP) yalangirira ku Leediyo y’eggwanga ‘Radio Uganda’ nga Gavumenti ya Idi Amin (RIP) bweyali ewambiddwa.

“Bannayuganda banange, ku lwa Uganda National Liberation Front, mbaleetedde amawulire amalungi! Obukulembeze bwannakyemalira Idi Amin bukomezeddwa olwaleero. Tusaba Bannayuganda mwenna okusigala nga muli bakkakamu nga bwetutereeza ebintu. Tusaba abasirikale bonna ababadde bakolera Gavumenti okudda mu nkambi ez’enjawulo gyebalina okubeera okwetoloola eggwanga lyonna. Yuganda kati erimu eddembe.

Bino mbyogera ku lwa Katonda n’Ensi yange”

Maj. Gen. David Oyite Ojok (15 April 1940 โ€“ 2 December 1983) bwatyo yafiira mu kabenje k’ennyonyi namunkanga ku myaka 43 era nga yeyali akolanga National Army Chief of Staff.